Deuteronomy 26:1-11

Ebibala eby’Amakungula ag’Olubereberye

1Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi, 2 aoddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye. 3Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.” 4Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo. 5 bKale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe
Jjajja ayogerebwako wano ye Yakobo.
yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo.
6 dNaye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu. 7 eBwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna. 8 fBw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo. 9 gYatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge. 11 hKale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.

Copyright information for LugEEEE